Okusoma ebyawandiikibwa kirala nnyo, naye bwobisemberera, noyiga okusoma mpola nga topapa, ogenda okulaba nga wama ddala biyingira. Bwoteeka enkola ya SOAP mukusoma enyiriri zino kikusobozesa okutuuka ewalako mu byawandiikibwa okusinga okumala ng’omuntu alikukinyumo nkukubiriza okutwala obudde okukola S.O.A.P. ennyiriri za buli lunaku ng’oliweka olabe bw’ofuna ebisingawo mu kusoma kwo okwa buli lunaku……ojja kwewuunya.
S – etegeeza ekyawandiikibwa- owandiika ekyawandiikibwa……ojja kwewuunya Katonda by’anakubikkulira ng’owandiise buwandiisi wansi mpola ebyo by’osoma
O –kitegeeza okwetegereza/okwekeneenya- ekyoi ky’olaba mu nnyiriri z’osoma? Abawuliriza be baani? Waliwo okuddiŋŋana ebigambo? Bigambo ki ebikusingidde?
A – kitegeeza okuteeka munkola- kino kye kiseera Ekigambo kya Katonda wekifuukira eky’obuntu. Katonda angamba ki leero? Nyinza ntya okusa mu nkola ebyo bye nnaakasoma mu bulamu bwange? Nkyukakyukaki ze neetaaga okukola? Waliwo kye neetaaga okukola?
P–kitegeeza Essaala. Saba Ekigambo kya Katonda kidde gy’ali. Bw’aba alina ky’akubikkulidde mu kiseera kino mu kigambo kye, kisabire. Yatula bw’aba aliko ekibi kyakubikuridde mu bulamu bwo.
Okuyiga Ekigambo kya Katonda bwetutyo kiyinza okukutwalira akadde akatono ddala oba akawerako kisinziira. Enaku ezimu kiyinza okutwala eddakiika 10 oba 15 zokka, ennaku endala n’okusingawo.
Wano waliwo ekyokulabirako eky’obuntu….
Abakkolosaayi 1:5-8
S – Okukkiriza n’okwagala ebisibuka mu ssuubi eriterekeddwa mu ggulu kulwamwe era bye mwawulira edda mu kigambo eky’amazima, enjiri eyatuuse gye muli. Mu nsi yonna enjiri eno ebala ebibala era ekula, nga bwe yabadde ekola mu mmwe okuva ku lunaku lwe mwagiwulira n’okutegeera ekisa kya Katonda mu mazima gakyo gonna. Wakiyiga ku Epafula, muweereza munnaffe omwagalwa, omuweereza wa Kristo omwesigwa ku lwaffe, era eyatubuulira n’okwagala kwo mu Mwoyo.
O – (Emirundi egisinga ngenda nekyendabye…..kyensooka okulaba nga neekkaanya enyiriri
A – Ekinyumidde leero y’engeri Katonda gye yakozesaamu omusajja omu, Epafra okukyusa ekibuga kyonna!!! Najjukibwa nti tuyitibwa buyitiddwa kubuulira balala ku Kristo……omulimu gwa Katonda okubunyisa enjiri….okugikula n’okugibala. Nawulira ennyiriri za leero kumpi nga zaayogerwa butereevu ne LGG…..“mu nsi yonna enjiri eno ebala ebibala era ekula, nga bwe yabadde ekola mu mmwe okuva ku lunaku lwe mwagiwulira n’okutegeera ekisa kya Katonda mu mazima gaakyo gonna.” Si kya ssanyu Ekigambo kya Katonda bwe kifuuka ekiramu bwe kityo ne kyogera butereevu we tuli?!!!! Okusaba kwange leero kwe kuba nti abakyala bonna abenyigira mu kuyiga kuno Baibuli bategeere ekisa kya Katonda era babeere n’ennyonta y’ekigambo kye.
P – Mukama omwagalwa, nsaba onnyambe mbeere “Epapras”…..okubuulira abalala ebikukwatako n’oluvannyuma ebinaavaamu obireke mu mikono gyo egy’okwagala. Nsaba onnyambe okutegeera n’okussa mu nkola bye nsomye leero mu bulamu bwange kinnoomu, bwe ntyo ne nnyongera okufaanana mmwe buli lunaku. Nnyamba okubeera n’obulamu obubala “ekibala” eky’okukkiriza n’okwagala……nga nnyweza essuubi lyange mu ggulu, so si wano ku nsi. Nnyamba okujjukira nti EKISINGA obulungi tekinnajja!
Ebirungo ebisinga obukulu mu S.O.A.P. enkola kwe kukwatagana KWO n’Ekigambo kya Katonda n’OKUKOZESA kwo Ekigambo kye mu bulamu BWO.
Emisomo gya Love God Greatly gyona wamu ne bayibuli bikolebwa munkola ya SOAP. Ebikozesebwa byona bijja kukuwaliriza okukolagana n’abantu n’okugenda mu maaso mu Kigambo kya kyakatonda mungeri eyewunyisa!
Ebitundu 100% kubintu by’ogula bidda mu buweereza bwaffe okutuyamba okuwa abakyala okwetoloola ensi yonna ekigambo kya Katonda mu lulimi lwabwe! N’okutuusa kati, emisomo gyaffe tugivvuunula mu nnimi 40+ era twagala okweyongera okukula!
Obuwagizi bwo kubuli kyogula kiyamba obuweereza bwaffe okukula!
Tukimanyi nti oyagala okuleeta enjawulo! Weegatte ku Love God Greatly mu bubaka bwayo okulwanyisa obutasoma Bayibuli mu nsi yonna n’okuwa abantu ebikozesebwa mu kuyiga Baibuli mu nnimi nnyingi nga bwe kisoboka.
Ng’ekibiina ekitali kya magoba, Love God Greatly eriwo olw’obugabi bw’abakyala nga ggwe abaasazeewo okuteeka ssente si nti ddala kikulu.
Buli kuwaayo kulina kye kukola mu by’omwoyo ku bulamu bw’abakyala abalala!