Tubaniriza mukitundu kyaffe

Ku Love God Greatly, tutegeera olutalo lw’okufuna obudde okubeera mu Kigambo kya Katonda wakati mu nnaku zaffe ez’emirimu mingi. Eno y’ensonga lwaki tufunyeyo  emisomo gyabakyala egya Baibuli  nga gyetoololera kunsoma ya bayibuli ennungi eyitibwa SOAP. Tufunayo eddakiika wakiri 15-20 zokka olunaku. tetukoma ku kukuyamba kufuna budde busoma Kigambo kya Katonda, wabula n’okuyiga okukikozesa mu bulamu bwo.

Kyetwegomba mutima,kwekukuwereza nga tuyita mu bayibuli era mululimi lwo kikuyambe okukola oba okuzuula ekibiina ky’abakyala abaagala okuyigaira awamu Ekigambo kya Katonda.

“Okusoma bayibuli kuno kukyasiza nyo Baibuli obulamu bwange! Byangu okukola, bitwala eddakiika 15 zokka, era kinyambye okusemberera Katonda! nkiwagira! 

ebikozesebwa mu kuyiga baibuli

Love God greatly kyeki?

Love God Greatly buweereza bw’abakyala kumutendera ogw’ensi yonna obubyambako okwagala ennyo Katonda n’obulamu bwabwe…okusoma Baibuli kumu, okuvvuunula kumu, n’omukazi omu. Tulwanyisa obutamanya Bayibuli okwetoloola ensi yonna mu nnimi ezisukka mu 40+ nga tuwa emisomo gya bayibuli emiteeketeeke obulungi n’ebikozesebwa okusobola okulungamya abakyala okutegeera Katonda mu bulamu bwabwe.

Play Video

Ekinyusi oguli emabega wa love God greatly

Wuliriza Omutandisi LGG, Angela Perritt.

Play Video

Emboozi z’Abavvuunuzi:

Okwetoloola ensi, waliwo obwetaavu obw’amangu obw’okuyigiriza abakyala Bayibuli mu nnimi ezitali zimu. Ebintu ebigulibwa mumisomo gino egya Bayibuli wamu n’ebiwebwayo bigenda butereevu mu kutuukiriza obwetaavu buno.

Wuliriza emboozi okuva mu bamu ku bakyala baffe nga bagabana engeri Katonda gy’atambulamu mu nsi nga bayita mu Love God Greatly.

Weyunge ku Kitundu kyaffe

Love God Greatly etandika n’enteekateeka enyangu ey’okusoma Baibuli, naye tetukoma awo. Twagala nnyo okukuŋŋaanira mu maka n’amakanisa mu kitundu, ate abalala ne tukwataganira ku mutimbagano n’abakyala okwetoloola ensi yonna.