Ebikumi n’enkumi z’abakyala bakuŋŋaana okwetooloola ensi yonna okuyiga Ekigambo kya Katonda nga bayita mumisomo gya bayibuli ezivvunuddwa aba Love God Greatly. Abakyala abamu emisomo gyaffe bagikola bokka ate abalala ne begatta ku bibiina by’omu kitundu oba ebibiina ebiri ku mutimbaganoi. Okuva mu ssamba z’emwanyi Colombia okutuuka mu bibuga ebinene eby’omu Mexico. Okuva mu bibira bye Venezuela okutuuka mu Patagonia mu Argentina, abakyala bakwatagana si kusoma Baibuli kyoka, wabula ne bakola n’ebitundu ebirimu okwagala n’okuzzaamu amaanyi mwe bayinza okukuliza obulamu bwabwe obw’omwoyo.
Twegatteko mu kujaguza byonna Katonda by’akola ng’ayita mu Love God Greatly nga bw’osoma obujulizi okuva mu bamu ku bakyala baffe.
“Abakazi bwe bateekebwamu okumanya amazima ga Katonda, ensi ekyusibwa omukazi omu ku omu.”
Erinnya nze Sylvia. Ndi maama w’abaana aboobuwala babiri abalungi, Jessa ne Ruth. Era ndi mukulembeze mu Suubi TeenMOPS Uganda. Tuwa obuyambi bamaama abato n’abaana baabwe.Tubawa obukugu mu kutunda n’okugula, obukugu mu nnima ey’omulembe nga beyambisa nakavundira, emmere, obujjanjabi,okubabangula mu by’obusuubuzi, n’olugendo mu kukula mu by’omwoyo. Mbeera mu Yuganda mu buva njuba ku lukalu lwa’abaddugavu ( East Africa), eyo mu kyalo kye bayita Kapeeka. Olulimi lwange oluzaaliranwa Luganda, era nga ndi muvvunuzi wa lulimi Luganda (LGGTranslator). Obwagazi bwange buli mu kusomesa buli mukazi alabe nga bwa’ali ow’omuwendo mu maaso ga Katonda, okubazimba nga abakulembeze, n’okubatonderawo omukisa bazuule amazima ku mugaso gwabwe ng/abakazi era bamaama.
Nze muto mu baana mwenda okuva mu maama naye ate si mu taata. Yalina abakyala bangi era nga tabeerawo. Olwokuba nga nakuzibwa mukyala yekka, nalabanga engeri gyeyakola nga mu n’amaanyi okutuliisa n’otusomesa. wano tewali mikisa mingi gisobozesa bakazi kubeerawo, naddala nga tasomye. Oluvanyuma lwokuyita mu kino wamu n’okukitegeera.Obwagazi bwange eri kuyamba ku bakyala okubayamba okukuza obusobozi bwabwe. Ku kw’ekisa kya Mukama, natikkirwa mu kkolegi era mwebaza olwekyo.
Mu nkubi bbiri mu abiri, twatandika eῃῃaana zaffe ne Ssuubi ku okusobola okusoma ku bya Biyibuli twatandika okukozesa enteekateeka ya wiike eyokusomerako” LGG”
n’ennyiriri za Bayiuli ku kibanja ekya “facebook”. Nateekanga ebyawandiikibwa ne
mbiteeka ku mukutu gwa “LGG”,ne tubikoppolola wansi, netubivvuunula mu lulimi
lwaffe oluzaaliranwa era ne tubikubaganyaako ebirowoozon’abakya mu kibinja. Naye sikimanyi nti ekimu ebiruubirirwa kya “LGG” kyali kya kuggyayo butakwatagana mu lulimi basobozese abakyala okutegeera ekigambo kya Katonda mu nnimi zaabwe enzaaliranwa. Kati, abakyala abaali batasobola kugenda buziba mu kigambo kya Katonda bayize. Twebaza Katonda olwomulimu gwa “LGG”.
Mu March wa nkumi bbiri abiri mu esatu, mu lukuῃῃaana lwa MOPS mu Buyonaani
(Greece), nasisinkana Viola ne Angela. Kyali nga ekirooto ekituukiridde okubalaba mu buntu! Nazzibwamu emaanyi bwe nasalawo okufuuka omuvvunuzi w’olulimi Oluganda mu “LGG” mu ttabi lye Yuganda. Nali sisobola kulinda kudda ku bwaboobwe olwo ntegeeze bannange n’abasumba emigaso gyonna egy’okubeera n’akatabo mwe tuwandiika n’okubeera n’enjiri evvunuddwa mu nnimi zaffe enzaaliranwa. Noolwekyo akatabo kaffe ak’Oluganda akasooka kajja kuteekebwateekebwa. Mu sssanyu!
Love God Greatly etandika n’enteekateeka ennyangu ey’okusoma Baibuli, naye tetukoma awo. Twagala nnyo okukuŋŋaanira mu maka n’amakanisa mu kitundu, ate abalala ne tukwataganira ku mutimbagano n’abakyala okwetoloola ensi yonna.
Tukimanyi nti oyagala okuleeta enjawulo! Weegatte ku Love God Greatly mu bubaka bwayo okulwanyisa obutasoma Bayibuli mu nsi yonna n’okuwa abantu ebikozesebwa mu kuyiga Baibuli mu nnimi nnyingi nga bwe kisoboka.
Ng’ekibiina ekitali kya magoba, Love God Greatly eriwo olw’obugabi bw’abakyala nga ggwe abaasazeewo okuteeka ssente si nti ddala kikulu.
Buli kuwaayo kulina kye kukola mu by’omwoyo ku bulamu bw’abakyala abalala!