Twandisabye osukkewo ku misomo gya bayibuli wabula obeere kitundu ku LGG owagire ng’oyita mubuvujjirizi obwejawulo nga okugula emisomo gya bayibuli,oba okuwereza wamu naffe.
Abakyala abasobola okuvvuunula ebiwandiiko okuva mu Lungereza okudda mu. Twetaaga okumanya ennyo ennimi zombi.
(Obumanyirivu mu by’ekikugu bya nkizo.)
Ku LGG, ebintu byonna bye tuwandiika oba bye tuvvuunula byekenneenyezebwa era ne bitereezebwa nga tebinnaba kufulumizibwa.
Twetaaga abakungaanya okutuyamba mu mulimu guno.
Ebisaanyizo by’okubeera omukungaanya mulimu okuba omumanyi mululimi, enkozesa y’ebigambo,okuwandiika,okwetayiza mululimi wamu n’okumanya bayibuli.
Abakyala abamanyi okukozesa (oba ab’etegefu okuyiga okukozesa) tekinologiya ow’enjawulo omuli Canva, Photoshop oba graphic editor okukola ebifaananyi ebyetaagisa mu kuyiga Baibuli.
Oyagala nnyo okuyamba abakyala abalala okukula mu bulamu bwabwe obw’omwoyo?
Twagala okukusembereza byona ebikozesebwa mukutendeka n’okubangula kikusobozese okutandika LGG eyiyo mwonoyita okusomesa abalal okwongera okukula n’okunywera mu mukama.
Ffenna twetaaga okuzzibwamu amaanyi. Mu kiseera kino tunoonya abakyala abalina ekirabo eky’okukumakuma banabwe era n’okubagazisa okukula mu kristo.
Obwanakyewa mu kitundu kino kuzingiramu obuweereza obwokwanukula ensonga, okusabira abalala, okukung’aanya ebiwandiiko…
Tukimanyi nti oyagala okuleeta enjawulo! Weegatte ku Love God Greatly mu bubaka bwayo okulwanyisa obutasoma Bayibuli mu nsi yonna n’okuwa abantu ebikozesebwa mu kuyiga Baibuli mu nnimi nnyingi nga bwe kisoboka.
Ng’ekibiina ekitali kya magoba, Love God Greatly eriwo olw’obugabi bw’abakyala nga ggwe abaasazeewo okuteeka ssente si nti ddala kikulu.
Buli kuwaayo kulina kye kukola mu by’omwoyo ku bulamu bw’abakyala abalala!